BREAKING NEWS
Observer: Minister Anite urges boda boda riders to save for the future Observer: Woman arrested with over 100kgs of marijuana in Arua Pulse Uganda: Who is Lina Zedriga, the woman chosen to lead NUP in Bobi Wine’s absence? East News: KAMPALA: Two Women Arrested For Impersonating Landowner to Process Loan East News: Namisindwa Parish Chiefs Protest Shs179M Allowance Delay Pulse Uganda: World Oral Health Day: Unilever campaign targets school children in Kampala, Wakiso MBU: Unilever Uganda, Pepsodent Oral Health campaign targets 100,000 pupils in Central Uganda MBU: Smirnoff Fiesta, Etania bring unforgettable energy to Bbosa Hostel courtyard in Nkozi

97.3 FM Kampala

92.1 FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

✓ ISO 9001:2015 Certified

Now Playing
Radio Simba Live
News

Eyefuulira eyamuweerera nagaana okumufumbirwa bamulagidde amuliyirire

Omulamuzi wa Kkooti y’e Kanungu agobye okusaba okwali kwatwalibwayo Fortunate Kyarikunda ngawakanya ensala n’ekiragiro bya Kkooti mu Civil suite nnamba 024 eya 2022 bwebamulagira okuliyirira Richard Tumwiine ssente oluvanyuma lwobutatuukiriza kyeyamusuubiza. Ono era omulamuzi yamulagidde okuliyirira Tumwiine ensimbi zakozesezza okuva ono lweyateekayo okusaba kuno.

Kyarikunda ngayita mu Bannamateeka be aba M/S Nasike & Co. Advocates yateekayo okusaba kwe nga 17-March-2023 ngayagala Kkooti esazeemu ensala y’omulamuzi ngagamba nti teyafuna summons era teyasobola kuwaayo kwewozaako kwe kuba essimu ye muganda we Rhona Atukwasa yeyagirina.

Mu nsala yaayo Kkooti yalagira Kyarikunda okuliyirira Tumwiine obukadde 9 zeyamumalirako ngamuweerera wamu n’akakadde kamu olwobulumi bweyamuyisaamu n’okukosebwa bwatatuukiriza kyakumufumbirwa kyeyali yamusuubiza.

Omulamuzi Asanasio Mukobi yategeezezza nti Kkooti yakizudde nti Kyarikunda wamu ne Munnamateeka we enfunda eziwerako tebalabikako mu Kkooti ye okuva lwebateekayo okusaba kuno.

Tumwiine ne Kyarikunda, nga bombi basomesa batandika okweyagala mu 2015 bwebaali basomesa ku Kiringa Primary School mu Gombola y’e Kambuga. Mu 2018 bakola endagaano y’obufumbo era mu kasaale ako Tumwiine yatandika okulabirira wamu n’okusasulira Kyarikunda ebisale by’essomero bweyali asoma Ddipulooma mu mateeka ku Law Development Centre mu Kampala. Tumwiine agamba nti yamusaasanyizaako obukadde 9 mu emitwalo 40 mukumuweerera.

Wabula nti Kyarikuba bweyamala okusoma yefuula ku ndagaano eyakolebwa eyokufumbirwa Tumwiine nga agamba nti ono yali mukulu nnyo ku myaka 60 nga yali wakumuwa obuzibu so nga ye Kyarikunda atemera mu myaka nga 30. Bano baali bateeseteese okwanjula okwali okwokubaawo mu February 2022.

 

 

About Mubiru Ali

Radio Simba News Team — Broadcasting from Kampala, Uganda on 97.3 FM and online at www.radiosimba.ug

Leave a Reply