Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa kutinta ne leero girindirire ku nnya ekiro ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga bafaafaagana News: Omumyuuka wa Sipiika wa Palamenti Thomas Tayebwa agamba nti lwakiri yesiga omulogo wenkuba ku kyalo okusinga enteebereza yobudde eweebwa News: Abakozi bekitongole ekivunaanyizibwa ku kibuga Kampala ekya Kampala Capital City Authority
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing · 236 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM
News

Bamusiga nsimbi abatembeeya essepiti bagenda kukwatibwa – Col. Nakalema

January 11, 2024 · Mubiru Ali
Akulira akakiiko okuva mu maka g’Omukulembeze w’Eggwanga akavunaanyizibwa ku basigansimbi aka @State House Investors Protection Unit, Col. Edith Nakalema agamba nti abasigansimbi okuva ebweru w’Eggwanga abajja kuno nebonooma emsimbi ate oluvannyuma nebafundikira nga bakola emirimu egyandikoleddwa Bannayuganda kuba kusomooza kwamaanyi eri ebyokwerinda by’Eggwanga.
Ono yategeezezza nti akakiiko kakulira katandise okukolera awamu n’ebitongole byebyokwerinda mu Ggwanga okulaba nti kino kikomezebwa. Nakalema yategeezezza nti abagwiira bonna abenyigira mu busuubuzi obulina okukolebwa Bannayuganda okugeza ng’okutunda amasseffuliya, obuuma ebikola ebyokunya, obumpwankimpwanki n’ebirala bakukwatibwa ne visa zaabwe zisazibwemu.