Eyalabikira mu katambi ngakuba omwana abula okumutta asibiddwa emyaka 40
Omukozi wawaka Tuhuhirwe Precious 37, eyalabikira mu katambi ngatulugunya omwana ow’emyaka 4 namutuusaako obuvune ku mubiri akirizza omusango mu maaso g’Omulamuzi wa Kkooti y’e Sharon Niwaha.
Omulamuzi wa Kkooti ye Kira Sharon Niwaha olunaku olwaleero awadde ekibonerezo kyakusibwa emyaka 40 eri omukozi wa waka Precious Tuhuhirwe 37, eyalabikira mu katambi ngatulugunya ebujje eryemyaka 4 oluvannyuma lwokukiriza omusango.
Bya Christina Nabatanzi

