Ettaka ly’ekibira ligombesezzaamu obwala omugagga woomu Kampala

Omugagga Hamis Massa nga musuubuzi e Nakasero mu Kampala akwattidwa okuva mu kakiiko k'omulamuzi Catherine Bamugemeirire lwa kutwala ttaka lya kibira kya Mbale Central Reserve.

Ettaka eryogerwako litudde ku kibanja  21 Church Road nga liwerako yiika nnya n'ekitundu.

Ono ebintu okumwonoonekera kiddiridde akakiiko  okukizuula nti ebiwandiiko kweyafunira ekyapa ku ttaka eryo bigingirire  ,ekiviiriddeko puliida w'akakiiko Ebert Byenkya okumutabukira olw'okumenya amateeka. 

Oluvannyuma omulamuzi Bamugemereire,   akulira akakiiko amulumirizza okwekobaana nebagagga banne ne batwala ettaka ly'ebibangirizi mu Mbale n'ajuliza Akakiiko k'ebyettaka aka Uganda Land Commission k'agambye nti kekaabawa ettaka. 

Wano w'alagiriride Poliisi okumukwata olw'okulimba akakiiko era bwatyo natwalibwa. 

No comments

Leave a Reply

LIsten Live

Throwback 🤟🤟🤟🎤🎤🔥Enyimba Eziyiseeko Emyaka #Wali luddawa Ebiseera Ebyo Mwanatu Twegatteko Live Ku 97.3 #RadioSimba Kati Kati 
#OldiesAreGoodies
Sureman Ssegawa

Throwback 🤟🤟🤟🎤🎤🔥Enyimba Eziyiseeko Emyaka #Wali luddawa Ebiseera Ebyo Mwanatu Twegatteko Live Ku 97.3 #RadioSimba Kati Kati
#OldiesAreGoodies
Sureman Ssegawa
...

3 0 instagram icon
Daniel Oketch 37 Ddreeva wa loole egwiridde emotoka ya buyonjo netta Munnamateeka Okoit Rapheal olwaleero Uganda Police Force emukutte nemuggalira ku Poliisi Entebe. Ono aguddwako omusango gwokuvugisa ekimama.

Daniel Oketch 37 Ddreeva wa loole egwiridde emotoka ya buyonjo netta Munnamateeka Okoit Rapheal olwaleero Uganda Police Force emukutte nemuggalira ku Poliisi Entebe. Ono aguddwako omusango gwokuvugisa ekimama. ...

69 4 instagram icon