Breaking
News: Gaagano amawanga gabantu nga go gasinga kwagala basajja baavu okuwasa bawala baabwe kuba abasajja abaavu balina kye babafunamu ekinene ennyo. News: Gasimbagane-Rwomushana-Buli yegaanye nti tamanyi Muwanga gyali Kati yavuddewa? Yeyetutte ku Poliisi? News: Ku Mutoto Cultural Centre batongozza okusala Imbalu omwaka guno nga kino kyakukolebwa okutuusa December.
▶ UP NEXT Awali Omukka 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing ยท 107 listening Simba FM Live
News

Nga lwaki musala ssente za Palamenti ebitundu 50 ku 100 – Sipiika Among

March 28, 2024 · Mubiru Ali
Sipiika wa Palamenti Nnaalongo Anitah Among avuddeyo nawakanya ekiteeso kya Minisitule y’ebyensimbi ekyokusala embalirira ya Palamenti ebitundu 50 ku 100. Ababaka bavuddeyo nebagamba nti ekiteeso kino kibeera kiswaza Palamenti.
Sipiika agamba nti kino kiba kitegeeza nti Ababaka tebajja kufuna musaala. Ono yewuunyizza lwaki bakiwandiise mu nnyukuta enkwafu nga balinga abagamba nti Palamenti terina kufuna ssente.