Breaking
News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu! News: Minisita avunaanyizibwa ku byentambula nenguudo Hon. News: Katikkiro Charles Peter Mayiga Nsisinkanye abaami beggombolola okuva mu masaza ga Buganda, twogedde ku nsonga ezenjawulo naddala engeri gye
ON NOW Ebyemizannyo ▶ UP NEXT Tokammalirawo 2:00 PM - 4:00 PM
Now Playing ยท 1,373 listening Simba FM Live
ebyemizannyo show photo

On Air

Ebyemizannyo

Bruce Omutabizi

1:00 PM - 2:00 PM 1:00 PM - 2:00 PM

Ogwa Kanyamunyu guzeemu okuwulirwa

October 27, 2020 · Mubiru Ali
Omusuubuzi w’omu Kampala Mathew Kanyamunyu wamu ne muganzi we Cynthia Munwangari bavuddeyo nebasaba Omulamuzi wa Kkooti Enkulu Steven Mubiru abaweeyo akadde bakozese ‘Plea-bargain’. Wano bajjakuba balina okukiriza nti batta Kenneth Akena olwo baweebwe ekibonerezo ekisaamusaamu.
Bino byogeddwa Bannamateeka baabwe okuli; Caleb Alaka, Evans Ochieng ne MacDusman Kabega abategeezezza Omulamuzi nti tebakyayagala kugenda mu maaso kuwulira bujulizi nga abajulizi 13 bebaka obujulizi.
Bano era basabye baweebweyo akadde nga bwebalindirira ekinaava mu kwetonda kwebakola eri abakulembeze ab’enono mu Acholi nga basaba ebatabaganye b’abennyumba ya Akena wamu n’abakulembeze b’ebika.
Wabula omulamuzi agaanye okuyimiriza omusango guno nategeeza nti bagenda kugenda mu maaso n’okuguwulira.