Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing · 877 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Enjuki zirumye wa myaka 4 n’akalirawo – Busia

May 12, 2017 · Mubiru Ali

Abatuuze mu bitundu by’ e Busia babuutikiddwa entiisa oluvannyuuma lw’omwana atemera mu gy’obukulu ena okulumbibwa enjuki ezimulumye nezimutwala ewa Ssenkaaba.

Omusasi waffe eruuyi eyo Waki Moses atutegeezezza nti Omwana ono Hatiti Deludani nga Mutabani wa Geoffrey Hatiti ku kyalo Shirika mu ggombolola y’e Sikuta mu Busia, bazadde be babadde bamulese awaka nga bagenze okuwenja akawogo, wabula bwafulumye okuzannya n’atanula okukasuka ejjinja mu muzinga gw’enjuki ewa mulirwana Bbanya Micheal era bwezityo enjuki nezimugwako ekiyiifuyiifu nezimuluma n’agwa wansi.

Wabula omu ku  bayise yaalabye omwana ono nga ali wansi ng’ayita banne okumuyambako nebamuyoolayoola era babadde tebannamutuusa mu ddwaliro n’assa ogw’enkomerero. Kitalo!