Emmundu endala ebbiddwa ku mupoliisi – Busia

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Waliwo emmundu endala  ebbiddwa ku Ofiisa wa Police abantu abatannategeerekeka mu kiro ekikeesezza olwaleero mu Disitulikiti y’e Busia era nebamuleka ng’apookya. 

Omwogezi wa Police mu bitundu by’e Bukedi, Kamulya Soali agamba nti omuserikale ono omubbako emmundu eno bamusanze ku mirimu ekiro ku bumu ku bufo obukebererwamu abantu oba tebalina bissi.

Kino kijjidde mu kiseera nga waakayita ennaku bunaku nga waliwo ba Abapoliisi vbabiri abaakubiddwa amasasi nebafiirawo era n’emmundu zaabwe nezitwalibwa ku Kalerwe ku njegooyego za Kampala.

Share.

Leave A Reply