Munnamateeka Mubiru ateereddwa Poliisi

Kyaddaaki Poliisi etadde Munnamateeka James Mubiru ku kakalu ka Poliisi. Mubiru ateereddwa okuva ku kitebe kya Regional Criminal Investigations Division Officer ku Jinja Road Police Station, Bernard Mugisha oluvannyuma lw’okuleeta abamweyimiridde 3. Abamweyimiridde kubaddeko Mavis Nakitende, Henry Kalyango ne Munnamateeka Derrick Mugambwa.
Ono alagiddwa okuddamu okulabikako ku nga 17-Sept-2019. Mubiru yakwatiddwa wamu n’abalala 3 abavunaanibwa ogw’okutta eyali omwogezi wa Poliisi Andrew Felix Kaweesi nga babadde bateereddwa ku kakalu ka Kkooti Registrar Ester Nansambu owa of the International Crimes Division Esther Nansambu. Wabula omusibe omu yabatebuse nasimattuka okukwatibwa oluvannyuma lw’okwekweka mu bbuutu ya Motoka mwebabadde ne banne.
 
Mubiru avunaaninbwa emisango okuli okulemesa ab’ebyokwerinda okukwata abantu mu mateeka kuba bakyalina emisango emirala egibavunaanibwa. Mubiru agamba alabise nga munafu nnyo ategeezezza nti bamusibye akakokoolo natwalibwa mu kifo kyatategedde.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Pulezidenti Museveni asisinkanye Bannamaggye okuva e Bungereza