Alipoota ku kuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti erabikako mu Palamenti akadde konna

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Akakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku by'amateeka nga kakulemberwa Omubaka Jacob Oboth Oboth akiikirira obugwanjuba bwa Budama kasuubirwa okuleeta alipoota yaako mu Palamenti olwaleero ku nsonga z'okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti .

Ensonga eno yabadde esuubirwa okulabikako eggulo ku lukanganga lw'ebyo ebigenda okuteesebwako wabula yalabikidde mu ebyo eby'okuteesaako mu nnaku eziba ziddirira omuli olwaleero oba enkya

Ko akakiiko kakkirizza eky'okuggya ekkomo ku myaka gy'omukulembeze w'eggwanga .

Ye Nampala w'ababaka mu Palamenti aba NRM eggulo yategeezezza nti bo nga aba NRM bakkaanyizza okukuba akalulu ku kiteese kino nga Palamenti tennagenda mu luwummula lwa Ssekukkulu .

 

Share.

Leave A Reply