Breaking
News: Hon. Ofwono Opondo alabika tajja kusirika, bwebamugambye nti yadduse mu Ggwanga akiwakanyizza! News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya nnantaggwa buwoomi tinta tinta ku abiri mu ettaano. News: Essaza Kyaggwe litandise okujaguza okuwangula ekikopo kyAmasaza, nga wetwogerera kimaze okutuuka ku Mbuga yEssaza mu Ggulu.
ON NOW Olutindo ▶ UP NEXT Simba Sports 8:00 PM - 9:00 PM
Now Playing ยท 109 listening Simba FM Live
olutindo show photo

On Air

Olutindo

Peter Kibazo - Evans Walusimbi

7:00 PM - 8:00 PM 7:00 PM - 8:00 PM
News

NEMA egamba nti beyasenda mu Lubigi mu tteeka bebalina okuliwa obukadde 600 buli omu mu tteeka

June 27, 2024 · Mubiru Ali
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku kukuuma obutonde bw’Ensi kya National Environment Management Authority (NEMA) Uganda kivuddeyo nekiwakanya ekiteeso ky’Ababaka ba Palamenti ababadde bagamba nti NEMA eriyirire Abatuuze begamba nti besenze mu Lubigi mu bukyaamu.
NEMA egamba nti etteeka lya Uganda ligamba nti omuntu yenna eyesenze mu ntobazi alina okuliwa ensimbi obukadde 600 okusobola okuzzaawo olutobazi olwo oba okusibwa emyaka 12.
Bino byogeddwa Executive Director wa NEMA Barirega Akankwasah, bwabadde alabiseeko mu Kakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku bitongole bya Gavumenti aka Committee of Commissions, Statutory Authorities and State Enterprises (COSASE), akatandise okunoonyereza ku nsonga za Lubigi.