Radio Simba – Ennene

Kampala 97.3 FM Mubende 92.1 FM

Ekadiyirizo ly’ebitundu by’ekyaama e Bungereza liguddwawo

Mu Bungereza waliyo omukyala Florence Schechte akoze ebyafaayo natandikawo Ekadiyirizo ly’ebitundu by’ekyaama by’abakyala erisookedde ddala oluvannyuma lw’okusonda ensimbi eziwerera ddala ppawundi za Bungereza 50,000.
Zoe Williams nga ono akola nga Marketing Manager w’ekadiyirizo lino agamba nti lyakuyamba okusomesa abalambuzi ku bikwatagana n’ebitundu by’ekyaama okusinziira mbeera y’ensonyi ebeerawo mu kusomesa abato.
Omutandisi walyo Florence Schechter agamba nti yafuna ekirowoozo kino oluvannyuma lw’okulaba ekadiyirizo ly’ebitundu by’ekyaama eby’abasajja mu ggwanga lya Iceland erya Icelandic Phallological Museum.
Ekadiyirizo lino lyakugulwawo nga 16 November 2019 mu kifo ekitali kya nkalakkalira ekisangibwa mu katale ke Camden mu kibuga London. Bagnda kutegeka omwoleso wansi w’omulamwa “Muff Busters: Vagina Myths and How to Fight Them.”
📸 CNN

Leave a Reply

eskort escort mersin kahramanmaraş escort niğde escort