Breaking
News: Katikkiro Charles Peter Mayiga Akawungeezi ka leero ŋŋenzeeko mu maka gomugenzi Alex Mukulu, okukubagiza abenju nabooluganda olwokuviibwako News: Olutindo -Kakande- Kivumbi tanatereera. Balaam tamanyi kyakola, kati awoze order mbu yali advise. News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Tukulinze
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing · 225 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Poliisi etandise okunoonyereza ku bibaddewo e Masaka

December 27, 2020 · Mubiru Ali
Omwogezi wa Uganda Police Force CP Fred Enanga avuddeyo ku bibaddewo e Masaka; “Enkya yaleero ttiimu yaffe mu Greater Masaka ekoleddwako eikolwa ebyefujjo abawagizi Bamunnakibiina kya National Unity Platform ku misanvu gya Poliisi e Kyabakuza oluvannyuma lw’okugaana okugoberera ebiragiro ebyakiriziganyiziddwako ku kubo ki eririna okukozesebwa okugenda mu Disitulikiti y’e Kyotera. Omukka ogubalagala gukozeseddwa okukkakanya abantu bano ababadde bakola efujjo nebalumizaamu ne Bannamawulire.
Omu ku bbo ye Munnamawulire wa Ghetto TV Ashraf Kasirye afunye ebisago wagulu w’eriiso lya kkono nga bimutuusiddwa akakebe ka tear gas. Yaddusiddwa mu Ddwaliro e Masak gyagiddwa okuleetebwa e Kampala.
Ekitongole kyaffe ekya Media Crimes kiguddewo fayiro ku nsonga eno era tusiima nnyo omulimu ogukolebwa Bannamawulire nga bakola amawulire mu campaings era tusuubiza okubakuuma nga bakwata ebikolwa ebyefujjo. Tusaba oyo yenna alina obujjulizi bwebifaananyi okubuleeta ku kitebe kyaffe ekya CID.”