Radio Simba – Ennene

Kampala 97.3 FM Mubende 92.1 FM

Edu alangiriddwa ku bwa Technical Director mu Arsenal

Eyaliko emunyeenye ya Arsenal ne Brazil Eduardo César Daude Gaspar aka Edu 41, yazaalibwa nga 15 – May – 1978 alangiriddwa ku bwa Technical Director bwa ttiimu ya Arsenal.
Edu kati yavunaanyizibwa ku kwasaganya emirimu gya batendesi ba ttiimu etandika, abazannyi abali mu Academy, okunoonya abazannyi n’okubagula.
Edu yamala sizoni 5 mu Arsenal okuva mu 2001, yasamba emipiira 30 mu sizoni ya 2003/04 eya ‘Unbeaten’ nga yali asamba mu makatti. Yasambira ttiimu ye ey’eggwanga eya Brazil emipiira 22, yaliko mu Corinthians, nazannyirako ne mu Valencia nga etendekebwa Unai Emery.
Yawummula omupiira mu 2010, nafuuka ‘Director of Football mu SC Corinthians Paulista era nga kati abadde ‘General Coordinator wa ttiimu y’eggwanga eya Brazil okuva mu 2016.

Leave a Reply

eskort escort mersin kahramanmaraş escort niğde escort