EC temuwa kibiina kyonna ssente okutuusa nga mbagambye – Minisita Mao
Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’Amateeka Norbert Mao yawandiikidde Ssentebe w’Akakiiko k’ebyokulonda aketengeredde aka Independent Electoral Commission Uganda Omulamuzi Simon Byabakama ngamulagira obutawa kibiina kyonna kyabyabufuzi ssente okutuusa ngamudidde oluvannyuma lwetteeka eryayisibwa nti buli kibiina ekirina Ababaka mu Palalementi ekitakiika mu IPOD sikyakuweebwa nsimbi yonna.

