Radio Simba – Ennene

Kampala 97.3 FM Mubende 92.1 FM

Eby’okunoonyereza ku by’obuggagga bya Bayindi bijulidde mateeka

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku bintu bya Bayindi abaava mu Yuganda ekya Departed Asians Properties Custodian Board (DAPCB) kyandisanga obuzibu okweddiza ebintu ebimu ebya Bayindi nga obwannanyini ku byo bwasalibwawo kkooti kuba tebisobola kuddamu kunoonyerezebwako okusinziira ku kiwandiiko ekyafulumiziddwa Attorney General William Byaruhanga ng’awabula ekitongole kya DAPCB ekyabadde kyagala okweddiza Plot 98 – 104 Nakivubo Road, nga yamusuubuzi Hajji Abdu Kasai, Byaruhanga agamba nti ebyobuggagga byonna ebyaliko enkaayana kkooti nessalawo eggoye tebisobola kuddamu kunoonyerezebwako kakiiko ka Palamenti.

Agamba nti Departed Asians’ Property Custodian Board ekolera wansi wa kawaayiro nnamba 4 mu Assets of Departed Asians Act Cap 83, akagamba nti Board eno ejjanga kulabirira ebyobuggagga byonna ebyagikwasibwa wansi w’akawaayiro 13 ak’etteeka lya Assets of Departed Asians Decree, 1973.
Wabula annyonyola nti: Expropriated Properties Act Cap 87 ne Expropriated Properties (Repossession and Disposal)(No.1) Regulations S.I 87 – 8 gateekawo ekkomo ku buyinza bwa DAPCB ne Minisita w’ebyensimbi ku kuggya eby’obuggagga ebyaweebwa omuntu mu mateeka nebidizibwa eyali nannyini byo.
Byaruhanga waviiriddeyo nga waliwo okubuuliriza ku byobuggagga 460 ebyali ebya Bayindi nga mulimu ne Plot 24 Kampala Road ey’omuggagga Sudhir Ruparelia gyagamba nti yagifuna mu mateeka eri n’ekkooti enkulu yakirambika bulungi.

Leave a Reply

eskort escort mersin kahramanmaraş escort niğde escort