Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-M7 atuleetera ebizibu atukaka system yAbazungu! Balaam amanye omulimu ggwe! News: Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II buli lwalabikako eri abantu be liba ssanyu gyereere! News: Mmeeya wa Nansana Municipality Sserunkuuma JohnBosco olunaku olwaleero asisinkanye abasuubuzi bo mu Katale ka Nansana Daily Market, ku Masitowa,
▶ UP NEXT Gospel Show 7:00 AM - 9:00 AM
Now Playing ยท 186 listening Simba FM Live
News

Sipeeya wa bombardier waali lwakuba bamuseera nnyo – Emuge

August 20, 2025 · Mubiru Ali
Peter Emuge, Head of Engineering owa Uganda Airlines, Peter Emuge avuddeyo nasambajja ebigambibwa nti ennyonyi za CRJ bombardier tezisaanidde kusaabaza bantu mu kadde kano olw’ebbula lya sipeeya waazo.
Emuge agamba nti sipeeya waali nti wabula kitwala enaku 300 okumufuna okuva lwoba omulagirizza, ono agamba nti bakayungirizi abagula sipeeya ono nebamutereka nabo bamuseera nga bakubisaamu ebbeeyi emirundi 2.
Okwogera bino abadde mu Kakiiko akavunaanyizibwa ku kulondoola emirimu gy’ebitongole bya Gavumenti aka Committee on Commissions, Statutory Authorities and State Enterprises (COSASE).
#ffemmwemmweffe