Ebyabawagizi ba NUP abavunaanibwa mu Kkooti y’amaggye bibi

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Abawagizi b’ekibiina ki National Unity Platform – NUP abavunaanibwa mu kkooti y’amagye e Makindye boolekedde okukandaalirira mu kkomera oluvannyuma lw’ekisanja ky’abatuula ku kkooti eno abakulemberwa Ssentebe waabwe Lt. Gen. Andrew Gutti okuggwako.

Ab’eŇčanda zaabwe ne Munnamateeka waabwe Shamim Malende olwaleero bakedde ku Kkooti nga basuubira nti abantu baabwe banaaleetebwa nga bwekyasalibwawo mu lutuula olwasembayo wabula abasirikale bakabatemedde ku mulyango nti entuula zaayimiriziddwa okutuusa nga Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni alonze omuntu omulala okukubiriza Kkooti eno.

Share.

Leave A Reply