Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Ebyemizannyo ▶ UP NEXT Tokammalirawo 2:00 PM - 4:00 PM
Now Playing · 501 listening Simba FM Live
ebyemizannyo show photo

On Air

Ebyemizannyo

Bruce Omutabizi

1:00 PM - 2:00 PM 1:00 PM - 2:00 PM

Omukulu w’essomero lya Pulayimale akwatiddwa ng’akabasanya omuyizi we – Kabale

May 29, 2017 · Mubiru Ali
Julius Mugalula omukulu w’essomero lya Bukinda Primary School erisangibwa mu ggombolola y’ e Bukinda mu Disitulikiti y’ e Kabale ali mu katu olw’ebigambibwa nti yakkidde omuyizi we n’amukabasanya.
Mugalula aggyiddwa mu kitundu gy’abadde yeekukumye  mu kibuga ky’ e Kabale nga yakwatiddwa olunaku olweggulo era n’aggalirwa mu kaduukulu ka Kabale  Central Police Station.
Elly Mate omwogezi wa Police mu kitundu kino agamba entabwe yavudde ku Mugalula ku lwokutaano oluwedde okubanga yakkira omuyizi ow’emyaka 14 n’amutwala mu maka ge agasangibwa ku kyalo Nyaruhanga Cell ku ssaawa munaana ezoomuttuntu nebaggalira mu nnyumba okumala akaseera akawerako ekyaleetera abatuuze okwemulugunya era nebakuba enduulu eyaviirako Mugalula okuteekako kakokola tondeka nnyuma era bagenda okutwala omwana okutwala omwana ono ku police y’e Kyannamira n’akkiriza nti yali akabasanyiziddwa.
Bwatyo Mate n’ategeeza nti bwekinaakakasibwa nti Mugalula bino yabikoze,  agenda kuggulwako omusango gw’okujjula ebitannaggya.