Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 258 listening Simba FM Live

Ogwa Ham ne DTB guzeemu omukoosi

August 31, 2020 · Mubiru Ali

Omusuubuzi w’omu Kampala Hamis Kiggundu avuddeyo nasaba Kkooti etawulula enkayana z’ebyenfuna egobe obujulizi bwa Diamond Trust Bank.

Kiggundu nga ye nannyini Kkampuni ya Ham Enterprises Limited ne Kiggs International (U) limited yatwala bbanka yaย  DTB -Uganda, ne DTB-Kenya mu Kkooti nga agamba nti zajja obuwumbi 120 ku akawunti ze nga tabawadde lukusa.

Olwaleero Bannamateeka ba Kiggundu bakulembeddwamu Fred Muwema bagamba nti bali bataddeyo okusaba kwabwe nga baagala Kkooti egobe obujulizi ba DTB kuba bwalimu ebituli.

Muwema agamba nti kyali kimenya amateeka DTB Kenya okwenyigira mu bizineesi n’ensimbi ne Ham mu Yuganda wamu n’okulagira banaabwe mu Yuganda aba DTB Uganda okuteekesa endagaano y’ebbanja mu Yuganda nga bagikolera Kenya.

Muwema agamba nti singa okusaba kwabwe kuyitamu, ensala y’Omulamuzi Henry Peter Adonyo enabaawo nga 5 – October – 2020, okuwulira omusango guno okulala kujja kuba tekwetaagisa.