Crime Intelligence enunudde omwana eyawambiddwa

Omumyuuka w’omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police ASP Luke Owoyesigyire; “Ekitongole kya Directorate of Crime Intelligence kitaasizza omwana ow’emyaka 4 Simon Ssenyonjo, eyawambibwa nga 2-Aig-2021 okuva e Wamala mu Nansana nga ali ku mulimu gwa Maama we nga azannya wabweru.
Abamuwamba basaba bazadde be obukadde 50 okuva ku Taata we Mudiima Kityo eyasobola okufuna akakadde 1 nakuwweereza ku ssimu yaabwe.
Ekikwekweto kyakoleddwa olunaku lw’eggulo nebakwata Katongole Hakim, Mawanda James ne Asiimwe Anna Maria okuva e Busabala B, mu Makindye Division, nebabasanga n’omwana.”

0 Shares
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply