BREAKING NEWS
Observer: Until governments act, Africans will seek Western citizenships Observer: Call it what it is: An abduction is not an arrest MBU: I thought I was too cool to get HIV – MC Kats reveals mystery MBU: King Saha announces 2026 concert at Kololo Independence Grounds Red Pepper: HUGE SCANDAL! Newplan Boss Omulen Cited In Fake Money Racket As 11 Are Caged Over Sh11bn ‘Industrial Park’ Land Scam Red Pepper: WAKISO DISTRICT IMPUNITY! Fired Worker Wins Sh36m Court Payout East News: SFC Soldiers Pick Up Former Kampala City Mayor, Elias Lukwago East News: Kabanda Sacked as PLU Secretary General Pulse Uganda: Lukwago taken from home by security operatives Pulse Uganda: Nigerian producer ePianoh urges more collaborations with Ugandan artistes

97.3 FM Kampala

92.1 FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

✓ ISO 9001:2015 Certified

Now Playing
Radio Simba Live

Bwetunayogerako n’Ababaka tujja kubategeeza ku mbeera eriwo – Bobi Wine

Omukulembeze wa National Unity Platform Hon. Kyagulanri Ssentamu Robert aka Bobi Wine; “Mbalamusizza Bannayuganda; Mpulidde abantu bangi nga baagala njogere ku kuyimbulwa kwabanaffe, Hon. Allan Ssewanyana ne Hon. Muhammad Ssegirinya.
1. Ndi musanyufu nti oluvannyuma lw’ebbanga eddene nga bali mu nkomyo nga tebavunaanibwa, Ababaka bavuddeyo e Kigo mu Kkomera ku kakalu ka Kkooti. Neebaza nnyo abakulembeze, Bannamateeka wamu ne mikwano gyaffe ababaddewo omwaka gumu nekitundu nga mubakyalira mu kkomera, okugenda mu kkooti nokuvaayo nemwogera kukyokubasiba awatali musango, okuyamba aba famire yaabwe nabo ababasabira.
2. Tetunayogera kiwanvu kuba tetunafuna mukisa kwogerako n’Ababaka banno. Tubadde nga twogera ne banaffe buli bwebateebwa okuva mu makomera entwogera nabo ekituyamba okutegeera engeri gyebakwatibwamu oba okuwambibwa, engeri gyebateereddwamu, biki ebyabatuukako nga bakwatiddwa, kiki ekyatuuseewo okutuuka okubayimbula wamu n’embeera y’obulamu bwabwe.
Wabula aba famire zaabwe batutegeezezza nti bano bali mukajanjabibwa. Tujja kusobola okwogera ku mbeera yaabwe nga tumaze okwogera nabo.
3. Nkiwuliddeko nti Ababaka bano bombiriri bayimbuddwa oluvannyuma lwokuteeseganye ne Fen. Museveni era nebabaako byebakiriziganya. Mbategeeza nti simanyi ku nteeseganya yonna, era bwewabaawo omuntu yenna eyenyigidde mu nteeseganya okulaba nti bano bakirizibwa okweyimirirwa bakikoze nga sikimanyiiko era nga sikikirizza.
Tusigala tugamba nti tetulina kwegayirira Gen. Museveni okutuwa eddembe eryatuweebwa Mukama Katonda. Ekyokuteeseganya ne Museveni okweyimirirwa so nga kirina kuyita mu mateeka mu Kkooti tekiswaza buswaza wabula kyabwewussa. Tusuubira nti mu naku eziddako tujja kusobola okusisinkana Ababaka bano twogerezeganye nabo olwo tubabuulire ekiddako. Ekibuuzo ekiriwo kati eri Gavumenti ekikyagiremye okuddamu kiri nti, Ani yatta abantu e Masaka era lwaki?”

About Mubiru Ali

Radio Simba News Team — Broadcasting from Kampala, Uganda on 97.3 FM and online at www.radiosimba.ug

Leave a Reply