Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 525 listening Simba FM Live

Bobi Wine bamugaanye okulaba ku Zaake

April 24, 2020 · Mubiru Ali

Omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine olunaku lw’eggulo yagaaniddwa okulaba ku Mubaka munne era Munnakisinde kya People Power – Uganda era Omubaka wa Mityana Municipality MP Zaake Francis Butebi mu Ddwaliro gyali e Naguru erya Iran – Uganda. Bobi Kyagulanyi agamba nti enaku 3 eziyise babadde tebakiriza bantu kumulaba wabula eggulo bakirizza Abantu batono nnyo okumulaba nga tewali yakiriziddwa kuyingira nassimu.