bobi wine awangudde engule ya Africa

Omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine; Ndimusanyufu nnyo okuba nga nalondeddwa okubeera omuntu asinze okukwata ku bantu wamu nokwagalwa ennyo ku Ssemazinga Africa 2018 nga nalondeddwa ekitongole kya Africa News. Kino kyakitiibwa nnyo kuba nateekebwa mu luse n’abantu abamaaanyi era abasinga okuweebwa ekitiibwa mu Africa okwali Pulezidenti wa Rwanda Paul Kagame Ssentebe wa African Union, Ssaabaminisita wa Ethiopia Abiy Ahmed, nabaduukirize abalwanyisizza ekirwadde kya Ebola mu DR Congo.
Kino tekyandisobose singa simmwe, tutoba buli lunaku okulaba nti tuleetawo enkyuukakyuuka nabwekityo kino kirungi okulaba nti emirimu gyetukola gisiimibwa wano eka n’emitala w’amayanja. Okusiimibwa kuno kutwongera maanyi okulaba nti tutuukiriza ebiruubirirwa byaffe eby’okulba nti Yuganda ne Ssemazinga Africa befuuka ekifo ekyeyagaza eri ffe n’abaana baffe.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Ebibaluwa bikiro kitwala omunaku bituuse Entebe mu Wakiso