Breaking
News: Eddogo mu bayimbi terigambika. Abegabya collabo tojja owedde. Amasaba gali e Makindye gasinga studio News: okwewandiisa mu Ngule kubulako mbale kuggulwewo anti kwa ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Omubaka omukyala owa Kampala Munnakibiina ki National Unity Platform Hon.
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing ยท 267 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM

Mbabazi addukidde mu kooti kuwakanya buwanguzi bwa Museveni.

March 1, 2016 · Mubiru Ali

Eyaliko Ssaabaminisita wa Yuganda era eyavuganya ku bwa Pulezidenti ku kisinde ekya Go – Forward John Patrick Amama Mbabazi addukidde mu kooti ensukkulumu okuwakanya okulondebwa kwa Pulezidenti Museveni okuddamu okufuga ekisanja ekirala.

Mbabazi agamba nti talabangako vulugu ng’ono eyeetobeka mu kalulu era ayagala Museveni asazibwemu.

Mbabazi ayise mu bannamateeka be aba Akampulira ne Soverino Twinobusingye Company Advocates.

Mu bawawaabirwa mulimu Museveni, akakiiko k’e byokulonda ne Ssaabawolereza wa Gavumenti. Basasudde emitwalo 400.000 era kooti ne 1000.000. eziraga obukakafu nti omusango bagwetegekedde.

Ate bo aba FDC balemereddwa okuteekayo omusango mu kooti olw’oulemesebwa Police.