Radio Simba – Ennene

Kampala 97.3 FM Mubende 92.1 FM

Bobi Wine atanateesa mirundi 5 mu Palamenti nti naye ayagala bwa Pulezidenti – Hon. Ogwanga

Omubaka akiikirira Usuk County mu Disitulikiti y’e Katakwi Peter Ogwanga (National Resistance Movement – NRM) bweyabadde ku Pulogulaamu ya Cedric Live Show yavuddeyo nalumba omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine; “Ababaka abamu befuula ba kafulu ku bintu ebimu, kyova olaba nti nabamu tanaweza namirundi 5 ng’ateesa mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga naye avaayo nagamba nti ayagala kubeera Pulezidenti, newewuunya! Tonaweza na mirundi 5 nga owandiikibwa mu Hansard ng’olowooza nti onafuga eggwanga, ebyo by’ebizibu abantu baffe byebasanga, waliwo abantu abefuula nti bamanyi ebintu kyokka nga mu mazima tebalina kyebamanyi yadde. Singa obabuuza abo abaagala okubeera ba Pulezidenti nti ‘Palamentary Rules of Procedure’ ziri ki nga amatama ntengo. Nebwobabuuza ‘Mission’ ne ‘Vision’ bya Palamenti tebabimanyi!”

Leave a Reply

eskort escort mersin kahramanmaraş escort niğde escort