Aduumira Police awanjagidde Bannamawulire

Aduumira Police e Mubende awanjagidde Bannamawulire mu kitundu ekyo okukwasizaako mu kulwanyisa ebikolwa by’obumenyi bw’amateeka. 

Okoyo Martin bino abyogedde ng’asisikanye ab’amawulire abeegattira mu kibiina kya Mubende Journalist Association ku yafeesi zaabwe ku Simons Garden e Mubende.

Annyonnyodde nti bannamawulire baamugaso nnyo eri Police olw’ ensonga nti balina amawulire mangi gebafuna agasobola okuyamba Police okulwanyisa ebikolwa by’obumenyi bw’amateeka.

Bo bannamawulire aba Mubende Journalist Association bategeezezza Dpc Okoyo Martin nga bwe basanga okusoomoozebwa mu kufuna amawulire ku Police olw’abakulu mu Police ababeera bataagala kwogera nabo ate bwe bakola amawulire ne beekwasa nti tebabeebuuzizaako.

No comments

Leave a Reply

LIsten Live

Sureman Ssegawa yatabye dda ku Luboggola Simba mu Program Tokamalirawo.

Sureman Ssegawa yatabye dda ku Luboggola Simba mu Program Tokamalirawo. ...

4 0 instagram icon
Mugiriko 🔥🔥🔥🤟🤟 Now 97.3 Tubuuza #Busolosolo Ki Bwomanyi Kuba #MoneyLender Be Uganda #SuremanSsegawa Atandise Now
#registerwithnvamubendefamily
#RadioSimba973

Mugiriko 🔥🔥🔥🤟🤟 Now 97.3 Tubuuza #Busolosolo Ki Bwomanyi Kuba #MoneyLender Be Uganda #SuremanSsegawa Atandise Now
#registerwithnvamubendefamily
#RadioSimba973
...

1 0 instagram icon
Abazigu ab’emmundu balumbye bbanka ya Equity ettabi erye Soroti mu kiro ekikeesezza olwaleero n’ekigendererwa eky’okunyaga ssente. Kino kireesewo obunkenke mu kitundu ab’ebyokwerinda bwebayiiriddwa okwetoloola ekibuga Soroti okutaasa embeera. Okukakana ngomukuumi wa kkampuni eyobwannanyini akwatuddwa ku bigambibwa nti yandiba nga yabadde mu lukwe luno.

Abazigu ab’emmundu balumbye bbanka ya Equity ettabi erye Soroti mu kiro ekikeesezza olwaleero n’ekigendererwa eky’okunyaga ssente. Kino kireesewo obunkenke mu kitundu ab’ebyokwerinda bwebayiiriddwa okwetoloola ekibuga Soroti okutaasa embeera. Okukakana ngomukuumi wa kkampuni eyobwannanyini akwatuddwa ku bigambibwa nti yandiba nga yabadde mu lukwe luno. ...

10 0 instagram icon
Ekibiina ky’ebyobufuzi ki NEED kyagala ekitongole ky’ebyenguudo ki Uganda National Roads Authority - UNRA ne Minisita w’ebyentambula, Gen. Edward Katumba Wamala baveeyo n’enteekateeka y’okulondoola omutindo gw’enguudo mu ggwanga okutaasa ebiyinza okuddirira. Aba NEED bagamba embeera y’enguudo yeraliikiriza olw’ebinnya ebiyitiridde n’enguudo ezimu okufuuka ganyegenya ekitadde obulamu bw’abantu matigga.

Ekibiina ky’ebyobufuzi ki NEED kyagala ekitongole ky’ebyenguudo ki Uganda National Roads Authority - UNRA ne Minisita w’ebyentambula, Gen. Edward Katumba Wamala baveeyo n’enteekateeka y’okulondoola omutindo gw’enguudo mu ggwanga okutaasa ebiyinza okuddirira. Aba NEED bagamba embeera y’enguudo yeraliikiriza olw’ebinnya ebiyitiridde n’enguudo ezimu okufuuka ganyegenya ekitadde obulamu bw’abantu matigga. ...

12 2 instagram icon