Bobi Wine afulumizza akatambi akalaga Dan nga akubwa essasi

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Bobi Wine avuddeyo nafulumya akatambi akagambibwa okuba nga kakwatibwa e Nansana mu kiro Munnakisinde kya People Power – Uganda Dan Kyeyune mweyakubirwa essasi eryamuttirawo. Okusinziira ku Bannakisinde kya People Power bagamba nti Dan yakubwa essasi Omusirikale wa LDU gwebategedde nti ye Faizal Kakooza nti era yalabikira mu katambi kano. Wabula bagamba nti bakyakungaanya bujulizi balyoke vagende mu kkooti.

Share.

Leave A Reply