Breaking
News: Eee……essaawa yonna!! lindirira. News: Abatuuze be Nansana East ll ababadde bakedde okwekalakasa nga bawakanya eyalangiriddwa ku bwa Ssentebe nga bagamba nti si yeyawangudde, Uganda Police Force ebawewenyudde emiggo. Bano bagamba nti omukyala Munnakibiina ki National Resistance Movement News: Minisita avunaanyizibwa ku Gavumenti ezebitundu Hon.
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing · 987 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM
Sports

Bannabulemeezi bakubiriziddwa okwetaniranga enteekateeka z’Obwakabaka bwa Buganda

November 28, 2021 · Mubiru Ali
Bannabulemeezi bakubiriziddwa okwetaniranga enteekateeka z’Obwakabaka bwa Buganda wamu n’okujjumbira ebigenda mu maaso okulaba nga bazza Buganda kuntikko.
Bino byogeddwa Abaami ba Ssaabasajja aba Magombolola agenjawulo okuva mu ssaza ly’e Bulemeezi nga bakulembeddwamu mituba 10 Ronald Kasule Balagadde bwabadde yetabye mu misinde gy’amazaalibwa ga Beene .
Mubaddusi abeetabye mu misinde gyamazaalibwa ga Kabaka ag’omulundi guno, mwemubadde namukadde Victo Nakubulwa ow’emyaka 85, era nga ono agàmba nti emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka gibadde tegiyinza kumuyitako.
Abaami ba Kabaka okuva mu Magombolola ag’enjawulo nga bakulembeddwamu mituba 10 Ronald Kasule Balagadde okuva mu gombolola y’e Ssemuto ne Cissy Serunjogi Nantaba mituba 2 Katikamu Mukuuma batubulidde ensonga lwaki bavuddeyo okwenyigira mu misinde gino.
Abantu ab’enjawulo abeetabye mu misinde gyamazaalibwa ga Beene bategeezezza nga bwekibagwanidde okwetaba mu misinde gino kuba abantu batono abalumirirwa bannaabwe era nebasaba abantu okutwala mu maaso kawefube w’okulwanyisa ekirwadde kya sirimu.
Bbo abavubuka bategeezezza nga guno bweguli omulembe gwabwe nga y’ensonga lwaki emisinde tegibatumiddwa mwana ate nga abalala bagamba nti emisinde gikuuma emibiri gyabwe nga miramu wàmu n’okugoba ebirowoozo.
Bya Lwanga Musa