Basatu bakwatiddwa mu bubbi bwa Bank e Masaka

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Abantu 3 abasuubirwa okuba ababbi ba Bank bakwatiddwa okuli Matovu Jamil ng’abeera Kitemu mu Wakiso, Nsereko Christopher ng’abeera Luwafu mu Makindye ne Ndahura Ivan ng’abeera mu Andrew cell mu Mbarara Municipality ate ye omulala neyemulula mu motoka nnamba UAU 346.

Bano okukwatibwa kidiridde bano okugezaako okufera customer wa bank ya DFCU e Masaka nga mukadde ako Manager wa Bank yabadde abalaba ku CCTV camera. Basobodde okwetegerezaako omu era nga abadde akwatiddwa camera zino enfunda eziwera. Era awo webayitidde abakuumi ba Bank nebabakwata.

Kigambibwa nti bano babadde batuula mu bank ne balaba ba Customer abaggyayo ssente enyingi oluvannyuma nebabagoberera nebababba. Lameck Kigozi nga ye mwogezi wa Poliisi akakasiza kino nategeeza nti bano bakwatiddwa.

Share.

Leave A Reply