Bannansi ba Burkina Faso ne Famire ya Sankara munsonyiwe – Blaise Compaore

Eyaliko Pulezidenti wa Burkina Faso, Blaise Compaoré avuddeyo neyetondera Bannansi wamu naboluganda lweyali munywani we Thomas Sankara olwokumutirimbula mu 1987 wamu n’ebikolobero byeyakola okuva lweyawamba obuyinza.
Gyebuvuddeko Kkooti mu Burkina Faso yasingisa Compaore emisango egyenjawulo era neragira asibwe mayisa. Compaore azze yeegaana ebimu ku bikolobero nga agamba nti bamusibako matu gambuzi kumuliisa ngo.
Compaoré, 71, ali mu buwangaguse ku muliraano mu Ivory Coast okuva lweyagibwa mu buyinza mu 2014 abantu bwebavaayo nebekalakaasa.
Yakomawoko mu Burkina Faso okumala enaku eziwerako mu mwezi guno wabula natakwatibwa. Pulezidenti Lieutenant-Colonel Paul-Henri Sandaogo Damiba yeyamuyita nga akabonero akokuddingana.
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply