Bannamawulire 6 bakunyiziddwa ku byokufulumya akatambi ka Salva Kiir

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Abalwanirizi b’eddembe lya Bannamawulire bavuddeyo nebasaba abobuyinza mu Ggwanga lya South Sudan bayimbule Bannamawulire 6 abakwatibwa ku bigambibwa nti bebata akatambi akaali kalaga Pulezidenti Salva Kiir 71, ng’omusulo gumuyitamu.
Bannamawulire nga bakolera ekitongole kya Gavumenti ekya South Sudan Broadcasting Corporation bakwatiddwa wiiki eno aba National Security Service, nga kigambibwa batwaliddwa okukunyizibwa bannyonyole ani yafulumya akatambi kano.
Share.

Leave A Reply