Bannamateeka ba Bobi Wine baggyeyo omusango mu butongole

Pinterest LinkedIn Tumblr +
AGUGGYEYO: Eyavuganya ku kifo ky’obwa Pulezidenti ku kkaadi ya National Unity Platform- NUP Kyagulanyi Ssentamu Robert aka

Bobi Wine nga ayita mu Bannamateeka be abakulembeddwamu Medard Lubega Sseggona enkya yaleero awaddeyo okusaba kkwe okuggyayo omusango mu butongole mweyali awakanyiriza okulangirira Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ng’omuwanguzi mu Kalulu ka 2021.
Kyagulanyi agamba nti ekimugisizaayo omusango alabye nga tajja kufuna bwenkanya oluvannyuma lwokulemesebwa okuteekayo obujulizi obuggya emirundi ebiri ku bitongole bya Gavumenti eby’enjawulo byagamba nti bibuzaawo abajulizi be wamu n’okubatulugunya, abebyokwerinda bazingako amaka ge wamu ne offiisi z’ekibiina nebamwononera obudde bweyandikozesezza ku musango.
Kyagulanyi asabye Kkooti emukirize aggyeyo omusango gwonna era nategeeza nti takikiddwa wadde okuweebwa enguzi okuva mu bawawabirwa wabula akikoze lwakusalawo kkwe.
Share.

Leave A Reply