Banange mutuduukirire tutaase Cedric Babu – Famire
Aba famire ya Cedric Ndilima Babu 46, bavuddeyo nebawanjagira Bannayuganda ab’omutima ogwekisa okuduukirira mutabani waabwe nga kati ali mu Intensive Care Unit (ICU) mu Ddwaliro e Nairobi. Kigambibwa nti Babu eyagudde ngali ku lugendo e Kigali Rwanda yaddusiddwa mu Kibuga Nairobi ngembeera ye yeyongera kuba mbi abasawo gyebakabatemedde nti yetaaga okukyuusa omutima.
Abafamire batandise okunoonya emitwalo 30 egya ddoola nga kekawumbi nga kamu n’obukadde 500 okutwalibwa e Bungereza alongosebwe.
Babu mutabani wa Cpat. Francis Babu nga yavuganyako ku kifo ky’Omubakja wa Palamenti owa Kampala Central.

