Banange muntaasa bankwatidde e Dubai – Dj Jacob Omutuuze

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Kkansala wa LC III owa Bunamwaya Jacob Akugizibwe Kyaligonza aka Djjacob Omutuuze avuddeyo nalajanira Ekitebe kya Yuganda mu Abu Dhabi okumutaasa oluvannyuma lwokukwatibwa enaku 4 eziyise.
Jacob avuddeyo ku mukutu gwe ogwa Face Book nategeeza nti yakwatibwa ku Kisaawe kye Dubai enaku 4 eziyise ku Terminal 1 nga wakuumirwa tafuna kyakulya nga newasula wabi nnyo.
Agamba nti gwemulundi gwe ogwasoose okugenda e Dubai wabula bamukutte nga bamuyita Munnansi wa Nigeria, nti ppaasipooti siyiye ne visa njigirire.
Ppaasopooti ye agamba nti bagitadde mu black list taliddamu kulinnya mu Dubai.
Share.

Leave A Reply