Breaking
News: Katikkiro Charles Peter Mayiga Akawungeezi ka leero ŋŋenzeeko mu maka gomugenzi Alex Mukulu, okukubagiza abenju nabooluganda olwokuviibwako News: Olutindo -Kakande- Kivumbi tanatereera. Balaam tamanyi kyakola, kati awoze order mbu yali advise. News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Tukulinze
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing · 208 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Munnansi wa Yitale yesse oluvannyuma lw’okubulwako ssente

August 16, 2019 · Mubiru Ali
Kitalo!
Waliwo Munnansi wa Italy Pierluigi Ruiliano Benni eyekubye essasi nafiirawo nga kigambibwa nti yabuliddwako omutemwa gwa ssente ogutanategeerekeka wamu nengeri ssente zino bwezamubuzeeko.
Omulambo gwe gusangiddwa nga gugaŋŋalamye mu kitaba ky’omusaayi mu maka ga mukwano ggwe Lucas Bally munnansi wa Switzerland ku kizinga ky’e Bulago mu Disitulikiti y’e Mukono.
Amyuuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano Luke Owoyesigyire agamba nti Poliisi yabakanye dda n’okunoonyereza.