Babakutte ne ssente ez’ebiccupuli

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Poliisi ya Kira Road ekutte abasajja babiri ku bbanka ya Opportunity nga bagezaako okuwa omukozi wa Bank nga bagezaako okuwa omukozi wa bbanka ebiccupuli bya doola $1800 ne Ppawundi £1100.

Bano kuliko Ali Kassuja 45 ne Alfred Mugabe 33 okuva e Mpererwe, omukozi wa bbanka ya Opportunity ku ttabi ery’e Kamwokya agamba bweyetegerezza ssente zino era nazikebera mu kkuuma nakizuula nti biccupuli era bwatyo nategeeza bakamaabe abayise Poliisi netuuka mubunnambiro.

Kassuja yategeezezza Poliisi nti ssente zino zikubirwa Kenya nebazibaguza ku ssente ezawansi ye ne banne abalala. Omu bwebamugambye ssente nfu yasese busesi nabategeeza nti yabadde yakazifuna okuva e Canada kizibwewe gyakolera.

Share.

Leave A Reply