Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Emambya ESaze ▶ UP NEXT Binsangawano 6:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 265 listening Simba FM Live
emambya show photo

On Air

Emambya ESaze

Kakos Soldier

Waking you up very early, with thrilling stories… 4:00 AM - 7:00 AM
Sports

Omusambi wa Mbarara City ayimiriziddwa emipiira 4

March 17, 2021 · Mubiru Ali
#SimbaSportsUpdates;
Akakiiko akakwasisa empisa aka FUFA Competitions Disciplinary Panel kayimirizza omusambi wa Mbarara City Fc Hillary Mukundane okumala empiira 4 nga tasamba.
Kigambibwa nti Mukundane yakozesa olulimi olutiisatiisa, ebinnyomoola, ebivvoola era ebirumya wamu n’ebikolwa ebyefujjo ku ba ‘match officials’ abaali mu mitambo gy’omupiira ogwali wakati wa Onduparaka FC ne Mbarara City nga 9.3.2021 ku Green light stadium Arua.
Akakiiko kagamba nti oluvannyuma lwa Hillary okukiriza omusango guno era n’okwetonda akakiiko kano akateekebwa kasazeewo kamuyimirize emipiira 4 egya Uganda Premier League embagirawo okuva nga 17.3.2021 era singa alemererwa okugoberera ekiragiro kino wakuwebwa ekibonerezo ekisingako.