Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 320 listening Simba FM Live
Sports

Azam FC esindikidde Nicholas Wadada emutwale

June 13, 2020 · Mubiru Ali

#SimbaSportsUpdates;
Ttiimu ya Tanzania eri mu kibinja kya Premier League, Azam FC yasindise ennyonyi okukima omusambi wa Uganda Cranes Wadada Nicholas nga betegekera liigi okuddamu ku Sunday.
Wadada yegatta ku Azam FC nga ava mu ttiimu ya Vipers SC eya Yuganda nga kkontulakiti ye yali yakuggwako mu July 2021 wabula mu December wa 2019 yassa omukono ku ndagaano empya okutuusa nga July 2022.
Ku lw’omukaaga Azam FC yakwambalagana ne Mbao FC olunaku olw’enkya.
Ekimeeza kya Tanzani kikulembeddwa Simba FC n’obubonero 71 nga ediriddwa Azam FC gyesinga obubonero 17 Yanga neddako n’obubonero 51 mu ky’okusatu.