avumenti esiimye emirimu gy’omugenzi Ssaabasumba

Gavumenti esiimye emirimu gy’omugenzi Ssaabasumba Dr. Cyprian Kizito Lwanga ku kisaawe e Kololo. Emmisa eno yetabiddwako abantu ab’enjawulo okuva mu Gavumenti eyawakati omuli Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni, Mukyala we Janet Kataaha Museveni, Omumyuka wa Pulezidenti Edward Ssekandi, Sipiika Rt Hon Rebecca Alitwala Kadaga, Omumyuka wa sipiika Jacob Oulanya Minisita Betty Amongi, Minisita w’ebyensimbi Matia Kasaija, Minisita w’ebyobulamu, Dr. Jane Ruth Aceng , Min. w’empisa Fr. Simon Lokodo, Ssabawandiisi w’ekibiina kya National Resistance Movement – NRM Justine Kasule Lumumba, Minisita w’ebyempuliziganya n’okuluŋŋamya Eggwanga Judith Nabakooba, nabalala bangi.

Leave a Reply