Gavumenti eriyiridde abategesi b’ebivvulu bya Bobi Wine ebyagaanibwa

Ssente Gavumenti ze yaliyiridde bapulomoota abaafiirwa olw’okuwera ebivvulu bya Bobi Wine zitabudde abategesi baabyo, bapulomoota, abakulira abayimbi ne bannakatemba.

Abatabuse bonna baasooka kukaabira wamu ne basaba Gavumenti ekkirize ebivvulu bya Bobi Wine gwe baali bataddemu ssente oba si kyo ebaliyirire. Wabula ssente bwe zazze abamu ne babula ku bannaabwe.

Juma Balunywa owa Balunywa Promotions Ltd. nga y’omu ku baasooka okutegeka ebivvulu bya Bobi Wine ku Colline Hotel e Mukono era ebimu ku byasookerwako okugaanibwa mu July wa 2018, ataamidde banne bwe baludde nga banoonya amakubo agabatuusa ewa Pulezidenti Museveni okumusaba abaliyirire ku ssente ze bafiiriddwa.

Balunywa agamba nti beerondamu abantu be baasindika ew’omukulembeze, nti wabula yeekanze wiiki ewedde nga ssente zigabwa e Mutundwe ku Serene Suites ate ng’abali mu mitambo okuli Andrew Benon Kibuuka akulira abayimbi ne bannakatemba, Tonny Ssempijja akulira ekibiina kya UMP-NET ekigatta abategesi b’ebivvulu ne bapulomoota n’abaakiikiridde Minisitule y’ekikula ky’abantu etwala abayimbi balina abantu be bataayise kusasulwa ate nga nabo baafiirwa.

ABAAWEEREDDWA SSENTE

1 Dick Productions eyagamba nti yafiirwa obukadde 150 nga yasingayo n’ennyumba ye e Makindye mu ‘bamanelenda’ ng’ategese ekivvulu e Ggaba ku Ssekukkulu n’e Kavumba ku Lusooka omwaka ne biyiibwa.

2 Pulomoota Fifi eyali ategese e Mubende n’omulala eyategeerekeseeko erya Yasin.

3 Emma Serugo ne Kaweesi abaali bategese eky’e Namboole ekya Kyarenga mu October wa 2018 nabo baaweereddwa ssente.

4 Bakanyama ba UUBA security aba Tonny Ssempijja abaagamba nti Bobi Wine teyabasasula mu kivvulu kya Kyarenga e Busaabala nabo baasasuddwa.

5 Sarah Nassuuna, ono yakubwa puleesa nga December 5, 2018 ku poliisi e Naggulu olwa poliisi okugaana ekivvulu kye yali ategese e Nakawuka teyafunye, wabula Ssempijja yategeezezza nti ensonga ze bazikolako.

Andrew Benon Kibuuka annyonnyodde

Abantu abaaleeta ebiwandiiko beebo abaasasuddwa. Pulojekiti eno yakulemberwa Tony Ssempijja eyasaba beewandiise, baaleeta n’obujulizi kwe babanjiza. Naye abantu tebaamutwala siriyaasi ne balaba nga byakupangirira. Baamala kuwulira nti ssente zaafunise ne baggyayo enjala.

Ate n’ebivvulu ebyatunuulirwa byebyo ebyaliwo mu nnaku za Ssekukkulu. Ebivvulu bya Balunywa by’emabegako wadde sigamba nti ye talina kusasulwa naye era teyaleeta mpapula. Ensobi gye ndaba, tetwebuuza ku bakulembeze ba Fire Base abatwala Bobi Wine n’ebivvulu bye ku bantu ki abaagula ebivvulu bye.

Twalowooza tebajja kukifaako kubanga byali bikwatibwako Gavumenti. Minisita w’eggwanga ow’ekikula ky’abantu, Peace Mutuuza era gwe twayitiramu ebizibu byaffe n’abitwala ewa Pulezidenti ne tufuna ssente.

Tonny Ssempijja by’agamba

Bammemba abali mu kibiina kya UMP-NET bokka be baafunye. Abataafunye tetubamanyi mu kibiina era twandibasanze wa nga tebeewandiisa. Nze nakola pulaani yonna nga nnoonya bwe tufuna ssente ezo era bwe twazifunye twazigabidde bannannyinizo.

Oyo Balunywa ebivvulu ebibye byali wala nnyo mu July ate nga twasinze kufa ku ebyo ebyagaanibwa mu nnaku enkulu. Abalala abataafunye nabo tebeewandiisa oba si bammemba ba kibiina.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
eyasalwa obuseke yetuze oluvannyuma lwa mukyala we okumugamba nti ali lubuto