Aunt Kaduuka atwaliddwa mu Kkooti ya Buganda Road

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Nakimanya Hellen aka AuntKaduuka Clowie atwaliddwa ku Kkooti ya Buganda. Munnamateeka wa National Unity Platform – NUP Shamim Malende agamba nti Ab’ebyokwerinda okuva SIU e Kireka bwabatwalidde ekiwandiiko kya Kkooti ekiragira okumuyimbula awatali bukwakulizo basazeewo kumutwala ku Kkooti ya Buganda Road.
Ono abadde mu kaduukulu okuva nga 14-12-2020 n’omwana ow’emyezi 2.
Share.

Leave A Reply