Obwakabaka busisinkanye abakulu b’Ekitongole kya Wells of Life

Obwakabaka busisinkanye abakulu b’Ekitongole kya Wells of Life okukubaganya ebirowoozo okulaba omukago gwebatta bwegutambula.

Katikkiro agambye nti ekizibu ekisinga okuvaako obwavu ly’ebbula ly’amazzi kubanga atalina mazzi tasobola kuba muyonjo, ate atali muyonjo aba mulwadde, omulwadde tasobola kukola ate bwotakola oyavuwala.

Katikkiro akubirizza abantu ba Kabaka bakuume nayikondo bulungi kubanga ky’ekirabo Kabaka kyabawadde nga ayagala bafune amazzi.

Agambye nti basuubira ebbanga ly’omukago werinaggwerako nga Ssaabasajja alina kyakozeewo ku nsonga y’amazzi mu Buganda.

Ekitongole kya Wells of Life Kya bwannakyewa okuva mu America, kyatta omukago n’obwakabaka okutuusa amazzi mu bantu ba Kabaka. Mu kiseera kino baatandise okusima nayikondo mu Ssaza lye Ssingo ne Buweekula , era e Mityana bagenda kuteekayo ettendekero erinaasomesa abagenda okulabirira nayikondo, okuziddaabiriza n’okuzisima.

0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply