Asuubira okwekalakaasa oyita ne Coffin yo – RCC Jinja

Resident City Commissioner (RCC) w’Ekibuga Jinja omuggya eyakalondebwa Rtd Maj. David Matovu avuddeyo nasaba oyo yenna alowooza ku kwekalakaasa okukikola nga yetisse nessanduuke mwebagenda okumuziika ku mutwe.
Maj Matovu, agamba; “Saagala kualaba oba kuwulira bikolwa nga ebyo mu Jinja; kujja kuba kulya mu nsi lukwe era anakikola alina okwetikka ssanduuke ye eyokumuziikamu agiteeke ku mabbali g’oluguudo olwo atandike okwekalakaasa ku nguudo wamu n’okwonoona ebizimbe by’abantu.” Bino yabyogeredde mu Pulezidenti @yoweri kaguta museveni yalonda mukyala Deborah Mwesigwa okusikira Eric Sakwa nalonda ne Maj. Matovu nga RCC w’ekibuga Jinja asoose.
Wabula Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine azze akiddingana lunwe nga bwasabye abawagizi be ne Bannayuganda okugoberera amateeka era nga bwebatali bakozi bafujjo. Wiiki ewedde yavaayo nategeeza nti yadde nga sibasanyufu nebigenda mu maaso mu ggwanga naye Ssemateeka abalambika kukozesa mateeka.
Ye Bishop Charles Isabirye Bameka, National Presiding Bishop owa Lutheran Church, mu kusabe kwe okwaguddewo yasabye Bannayuganda okugondera abo abali mu buyinza.
Wabula okusinziira ku Ssemateeka wa Yuganda buli omu alina eddembe okubeera omulamu (right to life – Article 22), buli muntu alina eddembe okweyagalira mu nsi ye (liberty Article 23), talina kutulugunyizibwa yadde okutuusibwako ebikolwa ebimutyoboola (freedom from torture and inhuman treatment and to dignity Article 24).
Mu mateeka terina muntu alina kuttibwa mubugenderevu okujjako singa aba awozeseddwa nasingisibwa omusango mu ngeri eyamazima n’obwenkanya Kkooti eri mu mateeka okumuwozesa omusango gwaba azizza mu mateeka ga Yuganda era ekibonerezo ekyo nekikakasibwa Kkooti ensukulumu.

No comments

Leave a Reply

LIsten Live

Throwback 🤟🤟🤟🎤🎤🔥Enyimba Eziyiseeko Emyaka #Wali luddawa Ebiseera Ebyo Mwanatu Twegatteko Live Ku 97.3 #RadioSimba Kati Kati 
#OldiesAreGoodies
Sureman Ssegawa

Throwback 🤟🤟🤟🎤🎤🔥Enyimba Eziyiseeko Emyaka #Wali luddawa Ebiseera Ebyo Mwanatu Twegatteko Live Ku 97.3 #RadioSimba Kati Kati
#OldiesAreGoodies
Sureman Ssegawa
...

3 0 instagram icon
Daniel Oketch 37 Ddreeva wa loole egwiridde emotoka ya buyonjo netta Munnamateeka Okoit Rapheal olwaleero Uganda Police Force emukutte nemuggalira ku Poliisi Entebe. Ono aguddwako omusango gwokuvugisa ekimama.

Daniel Oketch 37 Ddreeva wa loole egwiridde emotoka ya buyonjo netta Munnamateeka Okoit Rapheal olwaleero Uganda Police Force emukutte nemuggalira ku Poliisi Entebe. Ono aguddwako omusango gwokuvugisa ekimama. ...

64 4 instagram icon
Olwaleero mazaalibwa ga Ssenjovu Ivan aka Kasagazi Tumbeetu. Tukwagaliza olunaku lw'amazaalibwa olulungi.

Olwaleero mazaalibwa ga Ssenjovu Ivan aka Kasagazi Tumbeetu. Tukwagaliza olunaku lw`amazaalibwa olulungi. ...

8 0 instagram icon