Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Emambya ESaze ▶ UP NEXT Binsangawano 6:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 248 listening Simba FM Live
emambya show photo

On Air

Emambya ESaze

Kakos Soldier

Waking you up very early, with thrilling stories… 4:00 AM - 7:00 AM

kiwanda alemedde ku mpaka za miss curvy

February 13, 2019 · Mubiru Ali

Omubeezi wa Minisita w’ebyobulambuzi Godfrey Kiwanda Ssuubi avuddeyo olunaku olwaleero mu lukiiko olukulu olw’eggwanga nayogera ku mpaka zeyatongoza ez’abakyala Mungu byeyagemulira Ffiga n’obutuuliro nti ekigendererwa kyazo sikuleeta bakazi nga ebimu ku bintu eby’obulambuzi. Ono agamba nti ng’empaka zonna endala ne Miss Curvy bagenderera kusiima bulungi bwa Bannayuganda nti era empaka eziyise zibadde zitunulira bakazi batono bokka.

Ye omubaka Elizabeth Karungi ow’e Kanungu avuddeyo n’awagira Kiwanda nti empaka z’abakazi bonna ezibadde zitegekebwa zibadde zitunuulira nnyo kubuwangwa bw’abazungu. Nabwekityo nategeeza nti awagira empaka zino ezigenda okuyitimusa n’okusiima abakazi Mungu beyagemulira obutuuliro ne ffiga.