97.3 FM Kampala 921. FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

Now Playing
Radio Simba Live
News

Ass District Engineer w’e Mpigi akwatiddwa

Akakiiko akalwanyisa obuli bw’enguzi n’obukenuzi okuva mu maka g’omukulembeze w’Eggwanga nga kali wamu n’ekitongole ky’abambega ba Poliisi batutte Eng. Ssitakange Charles, Assistant District Engineer Civil Works, owa Mpigi mu Kkooti y’Omulamuzi e Mpigi ku bigambibwa nti yabba amafuta agali galina okweyambisibwa mu kukola enguudo. Yasindikiddwa ku alimanda okutuusa nga 22/7/2025.
Kigambibwa nti Ssitakange ne Kyambadde Sam Ag. District Engineer eyadduka mu mwaka gw’ebyensimbi 2023-2024 mu Mpigi Town Council mu Disitulikiti y’e Mpigi babba liita z’amafuta 21739 ezibalirirwamu obukadde 242,022,500/= agaali galina okukozesebwa mukukola enguudo wansi wa 1 Billion Road Maintenance Grant.
Kigambibwa nti ba Engineer basooka kudumuula bungi bw’amafuta agalina okukozesebwa okukola enguudo ezenjawulo oluvannyuma nebekobaana ne ba Maneja bamasundiro g’amafuta okufuna amafuta agaali gafisse.
Bano oluvannyuma babadde babikirira amafuta gebabba nga bakola ensaasaanya nga bakozesa nnamba za motoka ezitakyatambula okugeza; Tipper Reg No. LG 0002-082 eyalekerawo okukozesebwa mu mwaka gwa 2022 nga yalagibwa nti yanywa amafuta ga bukadde 18 n’ekitundu. Bano era bakozesa nnamba za motoka z’ebitongole ebirala ezitali za Disitulikiti y’e Mpigi nti zakozesebwa mu kukola enguudo okulaga ensaasanya y’amafuta ga bukadde 90.
Bambega era bakizuula nti olumu ku nguudo ezalina okukolebwa mu mwaka gw’ebyensimbi ogwo olwa Kyansoozi – Kampiringisa – Muyiira olwalina okukolebwa ku bukadde 97 terwakwatibwako yadde wabula abakulu bano balaga nti lwakolebwa era ssente zino nezibbibwa.

Leave a Reply