Omuyimbi Dr. Jose Chameleone avuddeyo ku mukutu gwa Face book nagamba nti waliwo abamutiisatiisa okumutta; “Mbadde nfuna obubaka obuntiisatiisa okuva ku nnamba eno +256 778 935 681. Omuntu ono yeyita General, nasooka nenfuna obubaka nga 10 – Sept – 2019 ku ssaawa kkumi nabbiri n’eddakiika kumi namukaaga (6:16pm) nga bangamba mpeereze obukadde 5 oba okuttibwa.
Saagitwala nga nsonga, olwaleero ku ssaawa ssatu n’eddakiika kumi namusanvu (9;17pm) bazeemu nebansaba mbaweereze obukadde 8. Nakoze dda lipooti ku Poliisi era nsuubira Uganda Police n’ebitongole byebyokwerinda binabakwata.
Abantu bangi babasse era kino sikitutte nga kyakusaaga. Oyo yenna ali emabega wa kino manya nti kati abantu n’abebyokwerinda bakimanyiiko.
Essimu eno eri mu mannya ga JENIFER MANIRADUHA. Nammwe aba MTN Uganda musobola okunnyamba ku kino.
Oyo yenna ansindikira bino, sitidde gyangu obudde bwonna bwoyagala kuba ndi mwetegefu. Ku nsi tubeerako omulundi gumu.
Awali Katonda sitidde.”
Menu