Amannya amapaatiike gagobezza 73 mu ssomero – Mbale

Abayizi abawerera ddala nsanvu mu basatu (73) bagobeddwa ku ssomero eriyitibwa Nkoma Sekondale School erisangibwa mu Disitulikiti y’e Mbale lwakukozesa mannya mapaatiike abakulira essomero kyebagambye nti kikolwa kya butaba na mpisa mu ssomero. 

Buli muyizi ssekinoomu aweereddwa ebbaluwa emugoba mu  ssomero nga emulagira obutadda ku ssomero oluva mu kulya Easter ate n’olukalala lw’abayizi bonna abagobeddwa neluteekwa ku kiwandiiko ekiweerezeddwako abazadde bonna wamu Ssentebe w’olukiiko olutwala essomero. 

Gano ge gamu ku mannya agazaalidde abayizi bano emberebezi : Missed Call, Big Foot, Robot, Chemical, Fake Dollar, Land Mine, Diesel, Voltage, Twine Temper, War Girl, Criminal, Smart Wire, Cash PRO. Amannya amalala mulimu; Cobra, Maje ne  Cash Prince. 

Tekinnategeerekeka ngeri ki amannya gano gyegajjamu ku bayizi bano wabula akulira essomero lino Yakoub Mwesigwa agamba nti abayizi bano babadde baawanyisa dda amannya gaabwe amatuufu ne gano nga gano gebateeka ku bitabo ne mu Alijesita y’essomero.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Ambulance esse owa boda boda e Mbale