Radio Simba – Ennene

Kampala 97.3 FM Mubende 92.1 FM

Amagombolola okuva mu Buddu, Ssingo, ne Kyaddondo gakiise embuga

Luwalo Lwaffe:

Amagombolola okuva mu Buddu, Ssingo, ne Kyaddondo gakiise embuga mu nkola ya Luwalo Lwaffe.

Mu gakiise kuliko;

Buddu
Mut XIII Kisekka 3.070.000
MutX Kyamulibwa 1.620.000
Mut XXIII Kyazanga 1.160.000
Mut XIV Malongo 1.095.000
Mut XV Kirumba 2.240.000

Ssingo
Mut VIII Kikandwa 1.745.000

Kyaddondo
Mumyuka Nakawa 6.030.000

Omugatte: 16.960.000

Bwabadde abatikkula, Minisita w’amawulire, Cabinet, Olukiiko, Abagenyi era Omwogezi w’obwakabaka, Noah Kiyimba, abakubirizza okwenyigira mu kulunda basobole okufuna ebigimusa kubanga ettaka likaddiye ate lyetaaga ebigimusa ebitali bijingirire.
Owek Kiyimba era asabye abaami ba Kabaka okwongera amaanyi mu kukunga abantu ba Kabaka bajjenga mu bungi mu kukiika embuga nga baleese oluwalo.

Minisita omubeezi owa Gavumenti ez’ebitundu, Joseph Kawuki asabye bonna abalina enkaayana ezekuusa ku bintu by’ennono bazitwale mu kkooti ya Kisekwa ezigonjoole.

Leave a Reply

eskort escort mersin kahramanmaraş escort niğde escort