97.3 FM Kampala 921. FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

Now Playing
Radio Simba Live
News

Amaggye gaggibwe ku nnyanja – Al Hajji Nadduli

Eyaliko Minisita owaguno naguli era nga kati ye muwabuzi wa Pulezidenti ku nsonga z’ebyobufuzi nokukunga Al Haji Abdul Nadduli ayagala abasirikale abaatekekebwa ku nnyanja (Protection Fisheries Unity) baggibweyo nga agamba nti ebikolwa byebakolerayo bittattana erinnya lya Gavumenti n’Omukulembeze w’Eggwanga.
Hajji Nadduli agamba nti ebizibu ebiri ku nnyanja tebitaliza kubanga ebiri ku Kyoga byebiri ku Muttanzige, Nalubaale nawalala era agamba nti kyandiba nga abasindikibwayo bandiba nga Gavumenti bajiriira munda nga musege.
Ono Kati ayagala abaserikale baggibweyo era awadde omukulembeze w’Eggwanga amagezi atendeke abavubi bennyini bekolere ku nsonga zaabwe.
Bya Lwanga Musa

Leave a Reply